Yeremiya 4:29-31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale,
ebibuga byonna biribuna emiwabo,
abamu beesogge ebisaka;
n’abalala balinnye waggulu ku njazi.
Ebibuga byonna birekeddwa ttayo;
tewali abibeeramu.
30 (B)Okola ki ggwe,
ggwe eyayonoonebwa?
Lwaki oyambala engoye entwakaavu,
ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,
n’amaaso n’ogasiiga langi?
Omala biseera nga weeyonja.
Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.
31 (C)Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,
okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,
okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,
ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,
“Zinsanze nze, nzirika.
Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.