Add parallel Print Page Options

(A)Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lw’abakuumi. Yeremiya ne baamussaayo n’emiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika.

(B)Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini, Ebedumeleki n’ava mu lubiri n’agenda eri kabaka n’amugamba nti,

Read full chapter