Add parallel Print Page Options

(A)Awo Yeremiya n’ayita Baluki mutabani wa Neriya, era nga Yeremiya ayogera ebigambo byonna Mukama bye yali ayogedde naye, Baluki n’abiwandiika ku muzingo. Awo Yeremiya n’agamba Baluki nti, “Nagaanibwa okugenda mu nnyumba ya Mukama. (B)Kale laga mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw’okusiiba osomere abantu ebigambo bya Mukama ebiri ku muzingo by’owandiise nga njogera. Bisomere abantu ba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe.

Read full chapter