Yeremiya 30:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!
Tewali lulirufaanana.
Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,
naye aliwona n’akiyitamu.
Okubikkulirwa 21:23-25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 24 (B)Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 25 (C)Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro.
Read full chapter
Okubikkulirwa 22:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe.
Read full chapter
Isaaya 30:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.