Add parallel Print Page Options

11 (A)Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 12 (B)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,

“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
    eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
    ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 (C)Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
    mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
    wansi wa buli muti oguyimiridde,
    era ne mutaŋŋondera,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter