Zabbuli 76
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.
76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
2 (A)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
era abeera mu Sayuuni.
3 (B)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.
4 Owa ekitangaala,
oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
5 (C)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
okuyimusa omukono gwe.
6 (D)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.
7 (E)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
8 (F)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
9 (G)bw’ogolokoka okusala omusango,
okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (H)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (I)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
ne bakabaka b’ensi bamutya.
Psalm 76
New King James Version
The Majesty of God in Judgment
To the Chief Musician. On [a]stringed instruments. A Psalm of Asaph. A Song.
76 In (A)Judah God is known;
His name is great in Israel.
2 In [b]Salem also is His tabernacle,
And His dwelling place in Zion.
3 There He broke the arrows of the bow,
The shield and sword of battle. Selah
4 You are more glorious and excellent
(B)Than the mountains of prey.
5 (C)The stouthearted were plundered;
(D)They [c]have sunk into their sleep;
And none of the mighty men have found the use of their hands.
6 (E)At Your rebuke, O God of Jacob,
Both the chariot and horse were cast into a dead sleep.
7 You, Yourself, are to be feared;
And (F)who may stand in Your presence
When once You are angry?
8 (G)You caused judgment to be heard from heaven;
(H)The earth feared and was still,
9 When God (I)arose to judgment,
To deliver all the oppressed of the earth. Selah
10 (J)Surely the wrath of man shall praise You;
With the remainder of wrath You shall gird Yourself.
11 (K)Make vows to the Lord your God, and pay them;
(L)Let all who are around Him bring presents to Him who ought to be feared.
12 He shall cut off the spirit of princes;
(M)He is awesome to the kings of the earth.
Footnotes
- Psalm 76:1 Heb. neginoth
- Psalm 76:2 Jerusalem
- Psalm 76:5 Lit. have slumbered their sleep
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Scripture taken from the New King James Version®. Copyright © 1982 by Thomas Nelson. Used by permission. All rights reserved.
