24 Don’t envy evil men(A)
or desire to be with them,(B)
for their hearts plan violence,
and their words stir up trouble.(C)

A house is built by wisdom,(D)
and it is established by understanding;
by knowledge the rooms are filled
with every precious and beautiful treasure.

A wise warrior is better than a strong one,[a]
and a man of knowledge than one of strength;[b](E)
for you should wage war with sound guidance—
victory comes with many counselors.(F)

Wisdom is inaccessible to[c] a fool;(G)
he does not open his mouth at the gate.(H)

The one who plots evil(I)
will be called a schemer.
A foolish scheme is sin,
and a mocker is detestable to people.

10 If you do nothing in a difficult time,
your strength is limited.
11 Rescue those being taken off to death,
and save those stumbling toward slaughter.(J)
12 If you say, “But we didn’t know about this,”
won’t He who weighs hearts(K) consider it?
Won’t He who protects your life(L) know?
Won’t He repay a person according to his work?(M)

13 Eat honey,(N) my son, for it is good,
and the honeycomb is sweet to your palate;(O)
14 realize that wisdom is the same for you.(P)
If you find it, you will have a future,
and your hope will never fade.(Q)

15 Wicked man, don’t set an ambush,
at the camp of the righteous man;(R)
don’t destroy his dwelling.
16 Though a righteous man falls seven times,
he will get up,(S)
but the wicked will stumble into ruin.(T)

17 Don’t gloat when your enemy falls,
and don’t let your heart rejoice when he stumbles,(U)
18 or the Lord will see, be displeased,
and turn His wrath away from him.

19 Don’t be agitated by evildoers,
and don’t envy the wicked.(V)
20 For the evil have no future;(W)
the lamp of the wicked will be put out.(X)

21 My son, fear the Lord, as well as the king,(Y)
and don’t associate with rebels,[d]
22 for destruction from them will come suddenly;
who knows what distress these two can bring?

23 These sayings also belong to the wise:(Z)

It is not good to show partiality in judgment.(AA)
24 Whoever says to the guilty, “You are innocent”(AB)
people will curse him,(AC) and tribes will denounce him;
25 but it will go well with those who convict the guilty,
and a generous blessing will come to them.

26 He who gives an honest answer
gives a kiss on the lips.

27 Complete your outdoor work, and prepare your field;(AD)
afterward, build your house.

28 Don’t testify against your neighbor without cause.(AE)
Don’t deceive with your lips.
29 Don’t say, “I’ll do to him what he did to me;
I’ll repay the man for what he has done.”(AF)

30 I went by the field of a slacker
and by the vineyard of a man lacking sense.
31 Thistles had come up everywhere,
weeds covered the ground,(AG)
and the stone wall was ruined.
32 I saw, and took it to heart;
I looked, and received instruction:
33 a little sleep, a little slumber,
a little folding of the arms to rest,
34 and your poverty will come like a robber,
your need, like a bandit.(AH)

Footnotes

  1. Proverbs 24:5 LXX, Syr; MT reads one is in strength
  2. Proverbs 24:5 LXX, Syr, Tg; MT reads knowledge exerts strength
  3. Proverbs 24:7 Lit is too high for
  4. Proverbs 24:21 Or those given to change
'Proverbs 24 ' not found for the version: New Testament for Everyone.

24 (A)Teweegombanga bakozi ba bibi
    era tobeesemberezanga.
(B)Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,
    era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.

(C)Amagezi ge gazimba ennyumba,
    n’okutegeera kwe kugiggumiza.
(D)Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,
    eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.

Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,
    n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
(E)Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,
    n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.

Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,
    talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.

Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,
    aliyitibwa mukujjukujju.
Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,
    abantu beetamwa omukudaazi.

10 (F)Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,
    olwo ng’olina amaanyi matono!
11 (G)Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,
    n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12 (H)Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”
    oyo akebera emitima aba talaba?
Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?
    Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?

13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,
    omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 (I)Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
    bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,
    n’essuubi lyo teririkoma.

15 Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,
    tonyaganga maka ge.
16 (J)Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,
    naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.

17 (K)Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,
    bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18 Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,
    n’amusunguwalira.

19 (L)Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,
    so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
20 (M)Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,
    ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.

21 (N)Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,
    era teweetabanga na bajeemu.
22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu
    era ani amaanyi akabi akalibatuukako?

Ebigambo Eby’amagezi

23 (O)Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
    Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
24 (P)Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”
    abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
25 Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,
    n’omukisa omulungi gulibatuukako.

26 Eky’okuddamu eky’amazima,
    kiri ng’okunywegerwa.

27 Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,
    oteeketeeke ennimiro zo,
    n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.

28 (Q)Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,
    so akamwa ko tekalimbanga.
29 (R)Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,
    era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”

30 (S)Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
    ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,
    wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,
    n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32 Ne neekaliriza ne ntegeera
    ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 (T)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
    n’okufunya emikono okuwummulako,
34 (U)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
    era n’obwetaavu ng’omutemu.