Add parallel Print Page Options

(A)Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,
    temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.

Abemikwano

(B)Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu
    nga yeesigamye muganzi we?

Omwagalwa

Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.
    Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo
    maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
(C)Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,
    era ng’akabonero ku mukono gwo,
kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,
    obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.
Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,
    omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.

Read full chapter