Add parallel Print Page Options

12 (A)Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,
    ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,
    ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.

Owoomukwano

13 Ggwe abeera mu nnimiro
    ne mikwano gyo nga weebali,
    ka mpulire eddoboozi lyo.

Omwagalwa

14 (B)Yanguwa okuvaayo eyo,
    odduke mangu ng’empeewo
oba ng’ennangaazi ento,
    oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.

Read full chapter