Add parallel Print Page Options

(A)Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,
    n’abazaana kinaana,
    n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
(B)ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,
    mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina
    okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;
    bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.

Abemikwano

10 Ani ono alabika ng’emmambya,
    omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,
    alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?

Read full chapter