Oluyimba 4:12-15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
era oli luzzi olwasibibwa[a], ensulo eyateekebwako akabonero.
13 (B)Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
erina ebibala byonna eby’omuwendo,
ne kofera n’emiti egy’omugavu
14 (C)n’omugavu ne kalikomu,
ne kalamo ne kinamoni,
n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
ne mooli ne alowe,
wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15 Oli nsulo ya nnimiro,
oluzzi olw’amazzi amalamu,
olukulukuta okuva mu Lebanooni.[b]
Omubuulizi 9:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba.
Read full chapter
Malaki 2:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.