Add parallel Print Page Options

13 (A)Omutiini[a] gubala ettiini zaagwo,
    n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
    omulungi wange ojje tugende.”

Owoomukwano

14 (B)Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
    mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
    ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
    n’amaaso go gasanyusa.
15 (C)Tukwatire ebibe,
    obube obutono,
obwonoona ennimiro ez’emizabbibu,
    kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:13 Emitiini mu Isirayiri gibala emirundi ebiri mu mwaka. Amakungula agasinga galingawo mu biseera ebya ttoggo