Okuva 7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda awali Falaawo, ne muganda wo Alooni y’ajja okubeera nnabbi wo. 2 Ojjanga kwogera bye nkulagira, ne muganda wo Alooni ayogere ne Falaawo asobole okuleka abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye. 3 (B)Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi y’e Misiri, 4 (C)tagenda kubawuliriza. Ndirumba Misiri n’amaanyi, ne ngisalira omusango, ne ndyoka nzigyayo abantu bange Abayisirayiri bonna. 5 (D)Era Abamisiri balitegeera nti Nze Mukama, bwe ndirumba Misiri n’amaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.”
Omuggo gwa Alooni Gufuuka Omusota
6 (E)Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. 7 (F)We baayogerera ne Falaawo, Musa yali aweza emyaka kinaana egy’obukulu, ne Alooni ng’aweza emyaka kinaana mu esatu. 8 Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, 9 (G)“Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.”
10 Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota. 11 (H)Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama. 12 Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. 13 (I)Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.
Amazzi Gafuuka Omusaayi
14 (J)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda. 15 Mu makya genda eri Falaawo ng’afuluma okulaga ku mazzi, omulindirire ku lubalama lw’omugga Kiyira[a]. Era twala n’omuggo ogwafuuka omusota. 16 (K)Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’ 17 (L)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, 18 (M)n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”
19 (N)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”
20 (O)Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21 Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.
22 (P)Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye; 23 n’akyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo. 24 Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi n’omugga nga banoonya amazzi ag’okunywa, kubanga amazzi g’omu mugga nga tegakyanyweka.
25 Awo ne wayitawo ennaku musanvu okuva ku lunaku Mukama lwe yakubirako omugga.
Footnotes
- 7:15 Kiyira Falaawo yagendanga okusinza lubaale w’Omugga Kiyira (kitaawe wa balubaale). Noolwekyo okukwata ku Kiyira, kyali nga kukwata mu liiso lya Misiri lyennyini.
Shemot 7
Orthodox Jewish Bible
7 And Hashem said unto Moshe, See, I have made thee as Elohim to Pharaoh: and Aharon thy brother shall be thy navi.
2 Thou shalt speak all that I command thee: and Aharon thy brother shall speak unto Pharaoh, that he send the Bnei Yisroel out of his land.
3 And I will harden the lev Pharaoh, and multiply My Otot and My Mofetim in Eretz Mitzrayim.
4 But Pharaoh shall not pay heed unto you, that I may lay My yad upon Mitzrayim, and bring forth Mine tzve’os, and My people the Bnei Yisroel, out of Eretz Mitzrayim by shefatim gedolim (great judgments).
5 And the Egyptians shall know that I am Hashem, when I stretch forth My yad upon Mitzrayim, bringing out Bnei Yisroel from among them.
6 And Moshe and Aharon did as Hashem commanded them, so did they.
7 And Moshe was fourscore years old, and Aharon fourscore three years, when they spoke unto Pharaoh.
8 And Hashem spoke unto Moshe and Aharon, saying,
9 When Pharaoh shall speak unto you, saying, Show a mofet (miracle) for you: then thou shalt say unto Aharon, Take thy matteh, and cast it before Pharaoh, and it shall become a serpent.
10 And Moshe and Aharon went in unto Pharaoh, and they did so as Hashem had commanded: and Aharon cast down his matteh before Pharaoh, and his avadim, and it became a serpent.
11 Then Pharaoh also called the chachamim and the mechashefim: now the kharetumei Mitzrayim, they also did in like manner with their secret lore.
12 For they cast down every man his matteh, and they became serpents: but the matteh Aharon swallowed up their mattot.
13 And He hardened lev Pharaoh, that he paid heed not unto them; as Hashem had said.
14 And Hashem said unto Moshe, the lev Pharaoh is hardened, he refuseth to let the people go.
15 Get thee unto Pharaoh in the boker; hinei, he goeth out unto the mayim; and thou shalt stand by the bank of the Nile to meet him; and the matteh which was turned to a nachash shalt thou take in thine yad.
16 And thou shalt say unto him, Hashem Elohei HaIvrim hath sent me unto thee, saying, Let My people go, that they may serve Me in the midbar: and, hinei, hitherto thou wouldest not hear.
17 Thus saith Hashem, In this thou shalt know that I am Hashem: hinei, I will strike with the matteh that is in Mine yad upon the mayim which are in the Nile, and they shall be turned to dahm.
18 And the dag (fish) that is in the Nile shall die, and the Nile shall stink; and the Egyptians shall loathe to drink of the mayim of the Nile.
19 And Hashem spoke unto Moshe, Say unto Aharon, Take thy matteh, and stretch out thine yad upon the mayim of Mitzrayim, upon their streams, upon their rivers, and upon their ponds, and upon all their mikveh of mayim, that they may become dahm; and that there may be dahm throughout kol Eretz Mitzrayim, both in vessels of wood, and in vessels of stone.
20 And Moshe and Aharon did so, as Hashem commanded; and he lifted up the matteh, and smote the waters that were in the Nile, in the sight of Pharaoh, and in the sight of his avadim; and all the mayim that were in the Nile were turned to dahm.
21 And the dag (fish) that was in the Nile died; and the Nile stank, and the Egyptians could not drink of the mayim of the Nile; and there was dahm throughout kol Eretz Mitzrayim.
22 And the kharetumei Mitzrayim did so with their secret lore: and lev Pharaoh was hardened, neither did he pay heed unto them; as Hashem had said.
23 And Pharaoh turned and went into his bais, neither did he set his mind to this also.
24 And all the Egyptians dug around the Nile for mayim to drink; they could not drink of the mayim of the Nile.
25 And seven days came and went, after Hashem had struck the Nile.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Copyright © 2002, 2003, 2008, 2010, 2011 by Artists for Israel International