Okuva 40:36-38
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
36 (A)Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula; 37 naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako. 38 (B)Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.