Add parallel Print Page Options

(A)Essanduuko ey’Endagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko n’olyoka ogisiikiriza n’eggigi. (B)Oliyingiza emmeeza, n’otegeka bulungi byonna ebigikolerwako. Oliyingiza ekikondo ky’ettaala era n’otegekako ettaala zaakwo n’ozikoleeza. (C)Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky’okwoterezangako obubaane mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, n’ossaawo olutimbe mu mulyango gw’Eweema ya Mukama.

Read full chapter