Add parallel Print Page Options

(A)Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”

(B)Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.

(C)Ate n’amugamba nti, “Zzaayo omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Musa n’azzaayo omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaayo, laba nga gufuuse mulamu ng’omubiri gwe ogwa bulijjo.

Read full chapter