Okuva 4:4-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo ogusitule.” N’agolola omukono gwe n’agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe. 5 (A)Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”
6 (B)Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.