Add parallel Print Page Options

20 (A)Musa n’addira mukyala we n’abaana be, n’abassa ku ndogoyi, n’asitula okuddayo mu nsi y’e Misiri, ng’akutte omuggo gwa Katonda mu ngalo ze.

21 (B)Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oddangayo e Misiri, okoleranga ebyamagero ebyo byonna bye nkulaze, awali Falaawo. Nze ndikakanyaza omutima gwe, abantu bange aleme okubakkiriza okugenda. 22 (C)Falaawo omugambanga bw’oti nti, Mukama agambye nti, ‘Isirayiri mutabani wange, ye mwana wange omubereberye;

Read full chapter