Okuva 4:16-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Y’anaakwogereranga eri abantu, ng’abategeeza bye wandiyogedde; ggwe n’oba nga Katonda gy’ali, ng’omutegeezanga by’anaayogeranga. 17 (B)Era oligenda n’omuggo guno, ng’ogukutte mu mukono gwo; gw’onookozesanga ebyamagero.”
18 Awo Musa n’addayo eri Yesero, kitaawe wa mukazi we n’amugamba nti, “Nkusaba onzikirize ŋŋende ndabe obanga baganda bange e Misiri bakyali balamu.” Yesero n’addamu Musa nti, “Genda mirembe.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.