Add parallel Print Page Options

14 (A)Mukama n’asunguwalira nnyo Musa, n’amugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gy’oli, era bw’anaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe. 15 (B)Ggwe ojja kwogeranga naye, nze nnaakutegeezanga ky’onoomugambanga, nange n’abayambanga mwembi, ne mbayigiriza eky’okukola. 16 (C)Y’anaakwogereranga eri abantu, ng’abategeeza bye wandiyogedde; ggwe n’oba nga Katonda gy’ali, ng’omutegeezanga by’anaayogeranga.

Read full chapter