Add parallel Print Page Options

30 Era ne bakola akapande ak’engule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bw’owandiika ku kabonero, nti:

Mutukuvu wa Mukama.

31 Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala ky’oku mutwe; nga Mukama bwe yalagira Musa.

Okumaliriza omulimu gw’Eweema ya Mukama

32 (A)Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.

Read full chapter