Add parallel Print Page Options

29 n’omusipi mu linena omulebevu omulungi omulange ow’ewuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu nga zitungiddwa ng’omudalizo n’amagezi mangi; nga Mukama bwe yalagira Musa.

30 Era ne bakola akapande ak’engule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bw’owandiika ku kabonero, nti:

Mutukuvu wa Mukama.

31 Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala ky’oku mutwe; nga Mukama bwe yalagira Musa.

Read full chapter