Add parallel Print Page Options

Ebyambalo by’Obwakabona

39 (A)Awo ne bakola, mu wuzi eza bbululu; ne kakobe ne myufu, ebyambalo ebirukiddwa obulungi eby’okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera ne Alooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ekkanzu ey’obwakabona Ennyimpi Eyitibwa Efodi

Awo ne bakola ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi mu wuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu, ne linena omulebevu omulange.

Read full chapter