Add parallel Print Page Options

Eweema ya Mukama Ekolebwa

Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola eweema ya Mukama n’emitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu n’ebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu n’amagezi mangi. Emitanda gyonna gyali gyenkanankana; ng’omutanda ogumu guweza obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, ate obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 10 Baagatta emitanda etaano nga bagisengese, gumu ku gunnaagwo, n’emitanda emirala etaano nagyo ne bagigatta bwe batyo.

Read full chapter