Add parallel Print Page Options

12 Baatunga eŋŋango amakumi ataano ku mutanda ogumu, era ne batunga eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda ku ludda olulala, eŋŋango nga zoolekaganye. 13 (A)Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ez’emitanda n’ebikwaso; eweema ya Mukama n’ebeera wamu nga nnamba.

14 Ne bakola entimbe kkumi na lumu nga zirukiddwa mu bwoya bw’embuzi ne bazibikka ku Weema.

Read full chapter