Add parallel Print Page Options

11 Ne batunga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe etaano, era ne batunga n’eŋŋango endala mu ngeri y’emu ku ludda olulala. 12 Baatunga eŋŋango amakumi ataano ku mutanda ogumu, era ne batunga eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda ku ludda olulala, eŋŋango nga zoolekaganye. 13 (A)Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ez’emitanda n’ebikwaso; eweema ya Mukama n’ebeera wamu nga nnamba.

Read full chapter