Okuva 36:1-3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
36 (A)“Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, Mukama gw’awadde obusobozi n’amagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya Mukama, bajja kukola nga Mukama bw’alagidde.”
2 (B)Awo Musa n’ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna Mukama gwe yali awadde amagezi n’obusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola. 3 (C)Musa n’abakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde Mukama nga bwe baali beeyagalidde eby’okukozesa eweema ya Mukama. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.