Add parallel Print Page Options

16 (A)Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.

17 (B)“Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.

Amateeka ku Mbaga Ennonde

18 (C)“Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse ogikwatanga. Munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitali mizimbulukuse, mu kiseera ekyategekebwa mu mwezi gwa Abibu nga bwe nabalagira; kubanga mu mwezi gwa Abibu mwe mwaviira mu Misiri.

Read full chapter