Okuva 33:2-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Ndiweereza malayika abakulemberenga; era ndigobamu Abakanani, n’Abamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. 3 (B)Yambuka mu nsi ekulukutiramu amata n’omubisi gw’enjuki. Naye sijja kugenda nammwe; sirwa kubazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ab’ensingo enkakanyavu.”
4 (C)Abantu bwe baawulira amawulire ago ag’ennaku, ne bakungubaga ne watabaawo ayambala eby’omu matu wadde eby’oku mikono ebyokwewoomya.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.