Add parallel Print Page Options

31 Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna. 32 (A)Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu. 33 (B)Omuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.’ ”

Read full chapter