Add parallel Print Page Options

17 (A)Kyenvudde nsuubiza okubaggya mu kubonaabona kwe balimu mu Misiri, mbaleete mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi; y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’

18 (B)“Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza by’ogamba. Kale, ggwe n’abakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w’Abaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’ 19 (C)Naye mmanyi nga kabaka w’e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng’awalirizibbwa n’amaanyi mangi.

Read full chapter