Okuva 25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebiweebwayo mu Weema Entukuvu
25 Mukama n’ayogera ne Musa nti, 2 (A)“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ng’okuteesa kw’omutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.
3 “Bino bye biweebwayo bye banaakukwasa:
“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;
4 n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;
n’obwoya bw’embuzi,
5 n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;
n’embaawo z’omuti gwa akasiya;
6 (B)n’amafuta g’ettaala;
n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza;
7 (C)n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, era ne ku kyomukifuba.
8 (D)“Bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo. 9 (E)Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu n’ebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.
Essanduuko
10 (F)“Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11 Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu. 12 Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. 13 Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu. 14 Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko. 15 (G)Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu. 16 (H)Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.
17 (I)“Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 18 Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira. 19 Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira. 20 (J)Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira. 21 (K)Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko. 22 (L)Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.
Emmeeza
23 (M)“Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 24 Ogibikkeko zaabu omuka ennyo; era ogyetoolooze ne zaabu omuge gwonna. 25 Era ogyetoolooze olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwetooloola olukugiro olwo. 26 Ogikolere empeta nnya eza zaabu, ozisibe mu nsonda ennya awali amagulu ana. 27 Empeta zijja kubeera waggulu okumpi n’omuge, emisituliro gy’emmeeza mwe ginaayisibwa. 28 Okole emisituliro mu muti gwa akasiya, ogibikkeko zaabu, egyo emmeeza kw’eneesitulirwanga. 29 (N)Era ogikolere essowaani eza zaabu, n’ebijiiko ebya zaabu, n’ensuwa eza zaabu, n’ebibya ebya zaabu eby’okufukanga ebiweebwayo. 30 (O)Era ku mmeeza eno onossaako Emigaati egy’Okulaga, egy’okubeeranga mu maaso gange bulijjo.
Ekikondo ky’Ettaala
31 (P)“Okole ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo n’enduli, ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 32 Kunaabako amatabi mukaaga omutuula emisubbaawa: amatabi asatu nga gali ku ludda lumu, n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 33 Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo ky’ettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ng’ebimuli by’alumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi n’ekimuli. 34 Ku kikondo ky’ettaala kyennnyini kubeeko ebikopo bina ebifaanana ebimuli by’alumondi nga mulimu emitunsi n’ebimuli. 35 Omutunsi gumu gujja kuba wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo, n’omutunsi ogwokubiri gubeere wansi w’amatabi abiri amalala, n’omutunsi ogwokusatu gubeere wansi w’amatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo. 36 Emitunsi n’amatabi biweesebwe mu kyuma kya zaabu omwereere, nga kiri bulambalamba n’ekikondo ky’ettaala.
37 (Q)“Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo. 38 Makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, byonna bikolebwe mu zaabu mwereere. 39 Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako. 40 (R)Weegendereze, byonna obikole ng’ogoberera ekifaananyi kye nkulaze wano ku lusozi.”
Exodus 25
New King James Version
Offerings for the Sanctuary(A)
25 Then the Lord spoke to Moses, saying: 2 “Speak to the children of Israel, that they bring Me an [a]offering. (B)From everyone who gives it willingly with his heart you shall take My offering. 3 And this is the offering which you shall take from them: gold, silver, and bronze; 4 blue, purple, and scarlet thread, fine linen, and goats’ hair; 5 ram skins dyed red, [b]badger skins, and acacia wood; 6 (C)oil for the light, and (D)spices for the anointing oil and for the sweet incense; 7 onyx stones, and stones to be set in the (E)ephod and in the breastplate. 8 And let them make Me a (F)sanctuary,[c] that (G)I may dwell among them. 9 According to all that I show you, that is, the pattern of the tabernacle and the pattern of all its furnishings, just so you shall make it.
The Ark of the Testimony(H)
10 (I)“And they shall make an ark of acacia wood; two and a half cubits shall be its length, a cubit and a half its width, and a cubit and a half its height. 11 And you shall overlay it with pure gold, inside and out you shall overlay it, and shall make on it a molding of (J)gold all around. 12 You shall cast four rings of gold for it, and put them in its four corners; two rings shall be on one side, and two rings on the other side. 13 And you shall make poles of acacia wood, and overlay them with gold. 14 You shall put the poles into the rings on the sides of the ark, that the ark may be carried by them. 15 (K)The poles shall be in the rings of the ark; they shall not be taken from it. 16 And you shall put into the ark (L)the Testimony which I will give you.
17 (M)“You shall make a mercy seat of pure gold; two and a half cubits shall be its length and a cubit and a half its width. 18 And you shall make two cherubim of gold; of hammered work you shall make them at the two ends of the mercy seat. 19 Make one cherub at one end, and the other cherub at the other end; you shall make the cherubim at the two ends of it of one piece with the mercy seat. 20 And (N)the cherubim shall stretch out their wings above, covering the mercy seat with their wings, and they shall face one another; the faces of the cherubim shall be toward the mercy seat. 21 (O)You shall put the mercy seat on top of the ark, and (P)in the ark you shall put the Testimony that I will give you. 22 And (Q)there I will meet with you, and I will speak with you from above the mercy seat, from (R)between the two cherubim which are on the ark of the Testimony, about everything which I will give you in commandment to the children of Israel.
The Table for the Showbread(S)
23 (T)“You shall also make a table of acacia wood; two cubits shall be its length, a cubit its width, and a cubit and a half its height. 24 And you shall overlay it with pure gold, and make a molding of gold all around. 25 You shall make for it a frame of a handbreadth all around, and you shall make a gold molding for the frame all around. 26 And you shall make for it four rings of gold, and put the rings on the four corners that are at its four legs. 27 The rings shall be close to the frame, as holders for the poles to bear the table. 28 And you shall make the poles of acacia wood, and overlay them with gold, that the table may be carried with them. 29 You shall make (U)its dishes, its pans, its pitchers, and its bowls for pouring. You shall make them of pure gold. 30 And you shall set the (V)showbread on the table before Me always.
The Gold Lampstand(W)
31 (X)“You shall also make a lampstand of pure gold; the lampstand shall be of hammered work. Its shaft, its branches, its bowls, its ornamental knobs, and flowers shall be of one piece. 32 And six branches shall come out of its sides: three branches of the lampstand out of one side, and three branches of the lampstand out of the other side. 33 (Y)Three bowls shall be made like almond blossoms on one branch, with an ornamental knob and a flower, and three bowls made like almond blossoms on the other branch, with an ornamental knob and a flower—and so for the six branches that come out of the lampstand. 34 (Z)On the lampstand itself four bowls shall be made like almond blossoms, each with its ornamental knob and flower. 35 And there shall be a knob under the first two branches of the same, a knob under the second two branches of the same, and a knob under the third two branches of the same, according to the six branches that extend from the lampstand. 36 Their knobs and their branches shall be of one piece; all of it shall be one hammered piece of pure gold. 37 You shall make seven lamps for it, and (AA)they shall arrange its lamps so that they (AB)give light in front of it. 38 And its wick-trimmers and their trays shall be of pure gold. 39 It shall be made of a talent of pure gold, with all these utensils. 40 And (AC)see to it that you make them according to the pattern which was shown you on the mountain.
Footnotes
- Exodus 25:2 heave offering
- Exodus 25:5 Or dolphin
- Exodus 25:8 sacred place
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Scripture taken from the New King James Version®. Copyright © 1982 by Thomas Nelson. Used by permission. All rights reserved.
