Okuva 15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Oluyimba lwa Musa
15 (A)Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti,
“Nnaayimbiranga Mukama,
kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
embalaasi n’omwebagazi waayo.
2 (B)Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.
Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga,
ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.
3 (C)Mukama mulwanyi;
MUKAMA, ly’erinnya lye.
4 (D)Amagaali ga Falaawo n’eggye lye
abisudde mu nnyanja;
n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu
basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.
5 (E)Obuziba bubasaanikidde;
basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.
6 (F)“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
gwalina amaanyi n’ekitiibwa;
omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
gwasesebbula omulabe.
7 (G)Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,
wamegga abalabe bo,
wabalaga obusungu bwo,
ne bubasiriiza ng’ebisasiro.
8 (H)Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,
amazzi ne geetuuma;
amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.
9 (I)“Omulabe n’ayogera nti,
‘Ka mbagobe, mbakwate.
Nnaagabana omunyago;
mbeemalireko eggoga.
Nnaasowolayo ekitala kyange,
ndyoke mbazikirize.’
10 (J)Naye wakunsa embuyaga zo,
ennyanja n’ebasaanikira.
Bakka ng’ekyuma,
ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.
11 (K)Ani akufaanana, Ayi Mukama,
mu bakatonda bonna?
Ani akufaanana, ggwe,
Omutukuvu Oweekitiibwa,
atiibwa era atenderezebwa,
akola ebyamagero?
12 “Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,
ensi n’ebamira.
13 (L)Mu kwagala kwo okutaggwaawo,
abantu be wanunula olibakulembera.
Mu maanyi go,
olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
14 (M)Amawanga galikiwulira ne gakankana,
ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.
15 (N)Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;
abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;
abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.
16 (O)Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,
balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,
okutuusa abantu bo, be wanunula,
lwe baliyitawo.
17 (P)Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,
kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga,
ekifo kyo Ekitukuvu,
kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.
18 Mukama anaafuganga
emirembe n’emirembe.”
Oluyimba lwa Miryamu
19 (Q)Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 20 (R)Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 21 (S)Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,
“Muyimbire Mukama,
kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
embalaasi n’agyebagadde.”
Amazzi g’e Mala n’aga Erimu
22 Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 23 (T)Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 24 (U)Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”
25 (V)Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.
Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26 (W)ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”
27 (X)Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.
出埃及記 15
Chinese Contemporary Bible (Traditional)
摩西頌讚耶和華
15 那時,摩西和以色列人便歌頌耶和華說:
「我要歌頌耶和華,
因祂大獲全勝,
祂把戰馬騎兵都捲入海中。
2 耶和華是我的力量,我的詩歌,
也成了我的拯救;
祂是我的上帝,我要讚美祂;
祂是我父親的上帝,我要尊崇祂。
3 耶和華是戰士,
祂名叫耶和華。
4 祂把法老的戰車和全軍都拋進海中,
法老的優秀將領都葬身於紅海,
5 大水淹沒他們,
他們如同石塊沉入深海。
6 耶和華啊,你大能的右手顯出榮耀;
耶和華啊,你的右手擊碎仇敵。
7 你大顯威嚴,擊倒那些起來對抗你的人;
你大發雷霆,他們便像枯草遇火,
一燒而盡。
8 你的鼻孔一呼氣,海水便堆聚起來,
洪濤便堆起水牆,海底深處也都凝固。
9 敵人說,『追啊,追上他們,
瓜分他們的財物,盡情地擄掠他們,
拔出刀來把他們斬盡殺絕。』
10 你叫風一吹,海水就淹沒他們,
他們好像鉛塊一樣沉沒在怒海中。
11 耶和華啊,萬神之中,誰能像你?
誰能像你——威嚴神聖,
可頌可畏,廣行神蹟?
12 你伸出右手,大地便吞滅他們。
13 你以不變的愛引領你所救贖的子民,
以大能帶他們進入你的聖所。
14 各邦各族聽見這些事就發抖,
非利士人也痛苦不堪,
15 以東的族長惶恐,
摩押的英雄顫慄,
迦南的居民都膽戰心驚。
16 驚駭恐懼籠罩著他們。
耶和華啊,
你臂膀的大能嚇得他們僵立如石,
直到你的子民都安然走過,
直到你買贖的子民都安然走過。
17 耶和華啊,
你要帶領自己的子民到你的山上安居——
到你為自己所造的住處,
主啊,到你親手建的聖所。
18 「耶和華必做王,直到永永遠遠。」
19 法老的戰車和騎兵追到海中,耶和華使海水回流淹沒他們,以色列人卻在海中踏著乾地走到對岸。 20 亞倫的姐姐米利暗是個先知,她手拿小鼓,帶領婦女擊鼓跳舞, 21 唱道:「要歌頌耶和華,因祂大獲全勝,把馬和騎兵都拋進海中。」
苦水
22 摩西帶領以色列人離開紅海,來到書珥曠野,走了三天仍然找不到水喝。 23 到了瑪拉,那裡的水卻是苦的,不能喝。因此那地方叫瑪拉[a]。 24 百姓就埋怨摩西說:「我們喝什麼呢?」 25 摩西向耶和華呼求,耶和華就指示他把一棵樹丟在水中,使水變得甘甜。耶和華又在瑪拉給百姓定下一些律例和法令,並在那裡試驗他們, 26 說:「你們若留心聽你們上帝耶和華的話,做我視為正的事,遵守我所定下的律例,我就不把降在埃及的疾病加在你們身上,因為我耶和華是醫治你們的上帝。」
27 到了以琳,那裡有十二股水泉和七十棵棕樹,他們就在水邊安營。
Footnotes
- 15·23 「瑪拉」意思是「苦」。
出埃及 15
Chinese Contemporary Bible (Simplified)
摩西颂赞耶和华
15 那时,摩西和以色列人便歌颂耶和华说:
“我要歌颂耶和华,
因祂大获全胜,
祂把战马骑兵都卷入海中。
2 耶和华是我的力量,我的诗歌,
也成了我的拯救;
祂是我的上帝,我要赞美祂;
祂是我父亲的上帝,我要尊崇祂。
3 耶和华是战士,
祂名叫耶和华。
4 祂把法老的战车和全军都抛进海中,
法老的优秀将领都葬身于红海,
5 大水淹没他们,
他们如同石块沉入深海。
6 耶和华啊,你大能的右手显出荣耀;
耶和华啊,你的右手击碎仇敌。
7 你大显威严,击倒那些起来对抗你的人;
你大发雷霆,他们便像枯草遇火,
一烧而尽。
8 你的鼻孔一呼气,海水便堆聚起来,
洪涛便堆起水墙,海底深处也都凝固。
9 敌人说,‘追啊,追上他们,
瓜分他们的财物,尽情地掳掠他们,
拔出刀来把他们斩尽杀绝。’
10 你叫风一吹,海水就淹没他们,
他们好像铅块一样沉没在怒海中。
11 耶和华啊,万神之中,谁能像你?
谁能像你——威严神圣,
可颂可畏,广行神迹?
12 你伸出右手,大地便吞灭他们。
13 你以不变的爱引领你所救赎的子民,
以大能带他们进入你的圣所。
14 各邦各族听见这些事就发抖,
非利士人也痛苦不堪,
15 以东的族长惶恐,
摩押的英雄颤栗,
迦南的居民都胆战心惊。
16 惊骇恐惧笼罩着他们。
耶和华啊,
你臂膀的大能吓得他们僵立如石,
直到你的子民都安然走过,
直到你买赎的子民都安然走过。
17 耶和华啊,
你要带领自己的子民到你的山上安居——
到你为自己所造的住处,
主啊,到你亲手建的圣所。
18 “耶和华必做王,直到永永远远。”
19 法老的战车和骑兵追到海中,耶和华使海水回流淹没他们,以色列人却在海中踏着干地走到对岸。 20 亚伦的姐姐米利暗是个先知,她手拿小鼓,带领妇女击鼓跳舞, 21 唱道:“要歌颂耶和华,因祂大获全胜,把马和骑兵都抛进海中。”
苦水
22 摩西带领以色列人离开红海,来到书珥旷野,走了三天仍然找不到水喝。 23 到了玛拉,那里的水却是苦的,不能喝。因此那地方叫玛拉[a]。 24 百姓就埋怨摩西说:“我们喝什么呢?” 25 摩西向耶和华呼求,耶和华就指示他把一棵树丢在水中,使水变得甘甜。耶和华又在玛拉给百姓订下一些律例和法令,并在那里试验他们, 26 说:“你们若留心听你们上帝耶和华的话,做我视为正的事,遵守我所订下的律例,我就不把降在埃及的疾病加在你们身上,因为我耶和华是医治你们的上帝。”
27 到了以琳,那里有十二股水泉和七十棵棕树,他们就在水边安营。
Footnotes
- 15:23 “玛拉”意思是“苦”。
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Chinese Contemporary Bible Copyright © 1979, 2005, 2007, 2011 by Biblica® Used by permission. All rights reserved worldwide.