Add parallel Print Page Options

(A)Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’ (B)Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 10 (C)Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.

Read full chapter