Okuva 1:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.
Read full chapter
Exodus 1:14
New International Version
14 They made their lives bitter with harsh labor(A) in brick(B) and mortar and with all kinds of work in the fields; in all their harsh labor the Egyptians worked them ruthlessly.(C)
Exodus 1:14
King James Version
14 And they made their lives bitter with hard bondage, in morter, and in brick, and in all manner of service in the field: all their service, wherein they made them serve, was with rigour.
Read full chapter
Okuva 5:5-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Falaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”
6 Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu[a] nti, 7 “Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.[b] 8 Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ 9 Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”
Read full chapterFootnotes
- 5:6 Abagabi b’emirimu baali Bamisiri, ate nga bannampala b’abantu Bayisirayiri.
- 5:7 Amatoffaali gakazibwanga mu musana, essubi nga likozesebwa okwongera okugagumya. Mu biseera ebyamakungula, ebitundu ebya waggulu empeke kwe zibeera bye byatemebwanga, ebikolo ebya wansi ne birekebwa mu nnimiro. Ebikolo ebyo ebya wansi, ebyasigalanga mu nnimiro, Falaawo bye yabagamba bateme okubumba amatoffaali.
Exodus 5:5-9
New International Version
5 Then Pharaoh said, “Look, the people of the land are now numerous,(A) and you are stopping them from working.”
6 That same day Pharaoh gave this order to the slave drivers(B) and overseers in charge of the people: 7 “You are no longer to supply the people with straw for making bricks;(C) let them go and gather their own straw. 8 But require them to make the same number of bricks as before; don’t reduce the quota.(D) They are lazy;(E) that is why they are crying out, ‘Let us go and sacrifice to our God.’(F) 9 Make the work harder for the people so that they keep working and pay no attention to lies.”
Exodus 5:5-9
King James Version
5 And Pharaoh said, Behold, the people of the land now are many, and ye make them rest from their burdens.
6 And Pharaoh commanded the same day the taskmasters of the people, and their officers, saying,
7 Ye shall no more give the people straw to make brick, as heretofore: let them go and gather straw for themselves.
8 And the tale of the bricks, which they did make heretofore, ye shall lay upon them; ye shall not diminish ought thereof: for they be idle; therefore they cry, saying, Let us go and sacrifice to our God.
9 Let there more work be laid upon the men, that they may labour therein; and let them not regard vain words.
Read full chapter
Okuva 5:16-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” 17 (A)Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ 18 Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”
Read full chapter
Exodus 5:16-18
New International Version
16 Your servants are given no straw, yet we are told, ‘Make bricks!’ Your servants are being beaten, but the fault is with your own people.”
17 Pharaoh said, “Lazy, that’s what you are—lazy!(A) That is why you keep saying, ‘Let us go and sacrifice to the Lord.’ 18 Now get to work.(B) You will not be given any straw, yet you must produce your full quota of bricks.”
Exodus 5:16-18
King James Version
16 There is no straw given unto thy servants, and they say to us, Make brick: and, behold, thy servants are beaten; but the fault is in thine own people.
17 But he said, Ye are idle, ye are idle: therefore ye say, Let us go and do sacrifice to the Lord.
18 Go therefore now, and work; for there shall no straw be given you, yet shall ye deliver the tale of bricks.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Holy Bible, New International Version®, NIV® Copyright ©1973, 1978, 1984, 2011 by Biblica, Inc.® Used by permission. All rights reserved worldwide.
NIV Reverse Interlinear Bible: English to Hebrew and English to Greek. Copyright © 2019 by Zondervan.