Okubikkulirwa 21:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro.
Read full chapter
Okubikkulirwa 21:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo.
Read full chapter
Danyeri 7:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
Read full chapter
Okubikkulirwa 20:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Awo ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gy’abo abaatemebwako emitwe olw’okunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.