Okubikkulirwa 1:5-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe, 6 (B)n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.
7 (C)Laba, ajja n’ebire,
na buli liiso lirimulaba,
n’abaamufumita balimulaba,
era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.
Weewaawo. Amiina!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.