Add parallel Print Page Options

(A)Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.

(B)Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.

10 Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.

Read full chapter