Add parallel Print Page Options

30 Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.”

Read full chapter

Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe[a],

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu.

24 (A)Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya.

Read full chapter

19 (A)“Gano ge mannya gaabwe:

“Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.

Read full chapter

12 Awo Kalebu n’agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa okumuwasa.” 13 Osunieri, omwana wa Kenazi muto wa Kalebu n’akiwamba bw’atyo n’aweebwa Akusa okumuwasa.

14 Awo Osunieri bwe yamala okuwasa Akusa n’amufukuutirira asabe kitaawe ennimiro; Akusa n’addayo eri kitaawe, bwe yali ava ku ndogoyi, Kalebe n’amubuuza nti, “Oyagala ki?” 15 N’amuddamu nti, “Wampa ensi nkalu ey’obukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu n’enzizi ez’amazzi.” Kalebu n’amuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu n’ekyemmanga.

Read full chapter