Numbers 8
International Children’s Bible
The Lampstand
8 The Lord said to Moses, 2 “Speak to Aaron. Tell him, ‘Put the seven lamps where they can light the area in front of the lampstand.’”
3 Aaron did this. He put the lamps so they lighted the area in front of the lampstand. He obeyed the command the Lord gave Moses. 4 The lampstand was made from hammered gold. It was gold from its base to the flowers. It was made exactly the way the Lord had showed Moses.
The Levites
5 The Lord said to Moses, 6 “Take the Levites away from the other Israelites and make them clean. 7 This is what you should do to make them clean. Sprinkle the cleansing water on them. Have them shave their bodies and wash their clothes. Then they will be clean. 8 They must take a young bull and the grain offering that goes with it. The grain offering will be flour mixed with oil. Then take another young bull for a sin offering. 9 Bring the Levites to the front of the Meeting Tent. And gather all the Israelites around. 10 Bring the Levites before the Lord. Then the Israelites should put their hands on them.[a] 11 Aaron will present the Levites before the Lord. They will be like an offering presented from the Israelites. Then the Levites will be ready to do the work of the Lord.
12 “The Levites will put their hands on the bulls’ heads. One bull will be a sin offering to the Lord. The other will be a burnt offering. This will remove the sins of the Levites so they will belong to God. 13 Make the Levites stand in front of Aaron and his sons. Then present the Levites as an offering to the Lord. 14 In this way you must set apart the Levites from the other Israelites. The Levites will be mine.
15 “So make the Levites pure. And present them as an offering. Then they may come to work at the Meeting Tent. 16 They will be given to me from the Israelites. I have taken them for myself. They are mine instead of the firstborn son of every Israelite woman. 17 Every firstborn male in Israel—man or animal—is mine. I killed all the firstborn in Egypt. So now I set them aside for myself. 18 I have taken the Levites instead of all the firstborn sons in Israel. 19 I have chosen the Levites from all the Israelites. And I have given them to Aaron and his sons. They will serve all the Israelites at the Meeting Tent. They will help remove the Israelites’ sins so they will belong to God. Then no disaster will strike the Israelites when they approach the Holy Place.”
20 So Moses, Aaron and all the Israelites obeyed the Lord. They did with the Levites what the Lord commanded Moses. 21 The Levites made themselves clean and washed their clothes. Then Aaron presented them as an offering to the Lord. Aaron also removed their sins so they would be pure for the Lord. 22 After that, the Levites came to the Meeting Tent to work. Aaron and his sons told them what to do. They did with the Levites what the Lord commanded Moses.
23 The Lord said to Moses, 24 “This command is for the Levites. Every man 25 years old or older must come to the Meeting Tent. They all have a job to do in the work there. 25 At the age of 50, he must retire from his job. He doesn’t have to work again. 26 He may help his fellow Levites with their work at the Meeting Tent. But he must not do the work himself. This is the way you are to give the Levites their jobs.”
Footnotes
- 8:10 put . . . them This showed that the people had a part in giving the Levites their special work.
Okubala 8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekikondo ky’Ettaala
8 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 (A)“Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bw’oba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’ ”
3 Alooni n’akola bw’atyo; n’akoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso g’ekikondo ky’ettaala, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. 4 (B)Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa ng’ekifaananyi ekyokulabirako Mukama Katonda kye yalaga Musa bwe kyali.
Obulongoofu bw’Abaleevi
5 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 6 (C)“Ggyamu Abaleevi mu baana ba Isirayiri, obafuule balongoofu. 7 (D)Okubafuula abalongoofu ojja kukola bw’oti: bamansireko amazzi ag’obulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze n’engoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu. 8 (E)Balagire baweeyo ente ya sseddume ento n’ekiweebwayo ekigenderako eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; n’oluvannyuma naawe oddire ente ya sseddume ento ogiweeyo olw’ekiweebwayo olw’ekibi. 9 (F)Abaleevi obaleete mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era okuŋŋaanyize awo ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna. 10 (G)Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo. 11 (H)Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa Mukama.
12 (I)“Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente zisseddume zombi; emu onoogiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, okutangiririra Abaleevi. 13 Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.
Abaleevi Bayawulwa ku Bantu
14 (J)“Bw’otyo bw’onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange.
15 (K)“Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 16 (L)Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri. 17 (M)Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna eby’omu nsi y’e Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange. 18 (N)Kaakano ntutte Abaleevi mu kifo ky’ababereberye mu baana ba Isirayiri. 19 (O)Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.”
20 Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 21 (P)Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni n’abawaayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, n’abatangiririra okubafuula abalongoofu. 22 Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
23 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 24 (Q)“Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; 25 naye bwe banaawezanga emyaka egy’obukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza. 26 Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.”
The Holy Bible, International Children’s Bible® Copyright© 1986, 1988, 1999, 2015 by Thomas Nelson. Used by permission.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.