Add parallel Print Page Options

Ebiweebwayo bya Erisaama ne Gamalyeri

48 (A)Ku lunaku olw’omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi, omukulembeze w’abantu ba Efulayimu, n’aleeta ekiweebwayo kye.

49 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya kya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

50 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

51 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

52 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

53 (B)era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erisaama mutabani wa Ammikudi.

Read full chapter