Nekkemiya 9:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Wabawa Omwoyo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu okulya, era wabawanga n’amazzi okumalawo ennyonta yaabwe.
Read full chapter
Zabbuli 23:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
Zabbuli 25:4-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.