Matthew 6
New King James Version
Do Good to Please God
6 “Take heed that you do not do your charitable deeds before men, to be seen by them. Otherwise you have no reward from your Father in heaven. 2 Therefore, (A)when you do a charitable deed, do not sound a trumpet before you as the hypocrites do in the synagogues and in the streets, that they may have glory from men. Assuredly, I say to you, they have their reward. 3 But when you do a charitable deed, do not let your left hand know what your right hand is doing, 4 that your charitable deed may be in secret; and your Father who sees in secret (B)will Himself reward you [a]openly.
The Model Prayer(C)
5 “And when you pray, you shall not be like the [b]hypocrites. For they love to pray standing in the synagogues and on the corners of the streets, that they may be seen by men. Assuredly, I say to you, they have their reward. 6 But you, when you pray, (D)go into your room, and when you have shut your door, pray to your Father who is in the secret place; and your Father who sees in secret will reward you [c]openly. 7 And when you pray, (E)do not use vain repetitions as the heathen do. (F)For they think that they will be heard for their many words.
8 “Therefore do not be like them. For your Father (G)knows the things you have need of before you ask Him. 9 In this (H)manner, therefore, pray:
(I)Our Father in heaven,
Hallowed be Your (J)name.
10 Your kingdom come.
(K)Your will be done
On earth (L)as it is in heaven.
11 Give us this day our (M)daily bread.
12 And (N)forgive us our debts,
As we forgive our debtors.
13 (O)And do not lead us into temptation,
But (P)deliver us from the evil one.
[d]For Yours is the kingdom and the power and the glory forever. Amen.
14 (Q)“For if you forgive men their trespasses, your heavenly Father will also forgive you. 15 But (R)if you do not forgive men their trespasses, neither will your Father forgive your trespasses.
Fasting to Be Seen Only by God
16 “Moreover, (S)when you fast, do not be like the [e]hypocrites, with a sad countenance. For they disfigure their faces that they may appear to men to be fasting. Assuredly, I say to you, they have their reward. 17 But you, when you fast, (T)anoint your head and wash your face, 18 so that you do not appear to men to be fasting, but to your Father who is in the secret place; and your Father who sees in secret will reward you [f]openly.
Lay Up Treasures in Heaven(U)
19 (V)“Do not lay up for yourselves treasures on earth, where moth and rust destroy and where thieves break in and steal; 20 (W)but lay up for yourselves treasures in heaven, where neither moth nor rust destroys and where thieves do not break in and steal. 21 For where your treasure is, there your heart will be also.
The Lamp of the Body(X)
22 (Y)“The lamp of the body is the eye. If therefore your eye is [g]good, your whole body will be full of light. 23 But if your eye is [h]bad, your whole body will be full of darkness. If therefore the light that is in you is darkness, how great is that darkness!
You Cannot Serve God and Riches
24 (Z)“No one can serve two masters; for either he will hate the one and love the other, or else he will be loyal to the one and despise the other. (AA)You cannot serve God and [i]mammon.
Do Not Worry(AB)
25 “Therefore I say to you, (AC)do not worry about your life, what you will eat or what you will drink; nor about your body, what you will put on. Is not life more than food and the body more than clothing? 26 (AD)Look at the birds of the air, for they neither sow nor reap nor gather into barns; yet your heavenly Father feeds them. Are you not of more value than they? 27 Which of you by worrying can add one [j]cubit to his [k]stature?
28 “So why do you worry about clothing? Consider the lilies of the field, how they grow: they neither toil nor spin; 29 and yet I say to you that even Solomon in all his glory was not [l]arrayed like one of these. 30 Now if God so clothes the grass of the field, which today is, and tomorrow is thrown into the oven, will He not much more clothe you, O you of little faith?
31 “Therefore do not worry, saying, ‘What shall we eat?’ or ‘What shall we drink?’ or ‘What shall we wear?’ 32 For after all these things the Gentiles seek. For your heavenly Father knows that you need all these things. 33 But (AE)seek first the kingdom of God and His righteousness, and all these things shall be added to you. 34 Therefore do not worry about tomorrow, for tomorrow will worry about its own things. Sufficient for the day is its own trouble.
Footnotes
- Matthew 6:4 NU omits openly
- Matthew 6:5 pretenders
- Matthew 6:6 NU omits openly
- Matthew 6:13 NU omits the rest of v. 13.
- Matthew 6:16 pretenders
- Matthew 6:18 NU, M omit openly
- Matthew 6:22 Clear, or healthy
- Matthew 6:23 Evil, or unhealthy
- Matthew 6:24 Lit., in Aram., riches
- Matthew 6:27 About 18 inches
- Matthew 6:27 height
- Matthew 6:29 dressed
Matayo 6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuwa Abaavu
6 (A)“Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”
2 “Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe. 3 Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola. 4 (B)Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera.”
Okusaba
5 (C)“Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo y’empeera yokka gye balifuna. 6 (D)Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye. 7 (E)Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ng’abatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi n’emirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu. 8 (F)Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
9 Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,
Kitaffe ali mu ggulu,
Erinnya Lyo litukuzibwe.
10 (G)Obwakabaka bwo bujje.
By’oyagala bikolebwe mu nsi,
nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11 (H)Otuwenga emmere yaffe eya buli lunaku.
12 (I)Tusonyiwe ebyonoono byaffe
nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona.
13 (J)Totuganya kukemebwa
naye tulokole eri omubi.[a]
14 (K)“Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. 15 (L)Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”
Okusiiba
16 (M)“Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ng’abo, eyo y’empeera yokka gye bagenda okufuna. 17 Naye ggwe bw’osiibanga olongoosanga enviiri zo n’onaaba ne mu maaso, 18 (N)abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”
Obugagga obw’Amazima
19 (O)“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. 20 (P)Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba. 21 (Q)Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”
22 “Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana. 23 Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”
24 (R)“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.[b] ”
Temweraliikiriranga
25 (S)“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo. 26 (T)Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo? 27 (U)Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?”
28 “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga ag’oku ttale! Tegaliiko kye geekolera, 29 (V)naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 30 (W)Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono! 31 Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ 32 (X)Ebyo byonna bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ng’ebyo byonna mubyetaaga. 33 (Y)Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako. 34 Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”
Scripture taken from the New King James Version®. Copyright © 1982 by Thomas Nelson. Used by permission. All rights reserved.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.