Matayo 26:55
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
55 (A)Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata.
Read full chapter
Makko 12:41
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekirabo kya Nnamwandu
41 (A)Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[a]
Read full chapterFootnotes
- 12:41 Etterekero ly’ensimbi mu yeekaalu lyabeeranga mu luggya lw’abakazi. Abasajja n’abakazi bakkirizibwanga mu luggya olwo, kyokka ng’abakazi bo bakoma awo, ate abasajja bo nga beeyongerayo munda mu yeekaalu
Matayo 26:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ”
Read full chapter
Yokaana 7:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.