Add parallel Print Page Options

(A)Naye nze, nzija kunoonya Katonda
    era mmulekere ensonga zange.
(B)Akola ebikulu, ebitanoonyezeka,
    ebyewuunyisa ebitabalika.
10 (C)Atonnyesa enkuba ku nsi,
    n’aweereza amazzi mu byalo.
11 (D)Ayimusa abo abanyigirizibwa
    n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
12 (E)Aziyiza enkwe z’ababi,
    emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
13 (F)Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,
    n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.

Read full chapter