Add parallel Print Page Options

15 (A)olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,
    era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
16 (B)Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,
    olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
17 (C)Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,
    n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
18 (D)Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;
    olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
19 (E)Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,
    era bangi abalikunoonyaako omukisa.

Read full chapter