Job 6
Complete Jewish Bible
6 Iyov responded:
2 “I wish my frustration could be weighed,
all my calamities laid on the scales!
3 They would outweigh the sands of the seas!
No wonder, then, that my words come out stammered!
4 For the arrows of Shaddai find their mark in me,
and my spirit is drinking in their poison;
the terrors of God are arrayed against me.
5 “Does a wild donkey bray when it has grass?
Does an ox low when it has fodder?
6 Can food without flavor be eaten without salt?
Do egg whites have any taste?
7 I refuse to touch them;
such food makes me sick.
8 “If only I could have my wish granted,
and God would give me what I’m hoping for —
9 that God would decide to crush me,
that he would let his hand loose and cut me off!
10 Then I would feel consoled;
so that even in the face of unending pain,
I would be able to rejoice;
for I have not denied the words of the Holy One.
11 “Have I enough strength to go on waiting?
What end can I expect, that I should be patient?
12 Is my strength the strength of stones?
Is my flesh made of bronze?
13 Clearly, I have no help in myself;
common sense has been driven from me.
14 “A friend should be kind to an unhappy man,
even to one who abandons Shaddai.
15 But my brothers are as deceptive as vadis,
as vadi streams that soon run dry;
16 they may turn dark with ice
and be hidden by piled-up snow;
17 but as the weather warms up, they vanish;
when it’s hot, they disappear.
18 Their courses turn this way and that;
they go up into the confusing waste and are lost.
19 The caravans from Tema look for them,
the travelers from Sh’va hope to find them;
20 but they are disappointed, because they were confident;
on arrival there, they are frustrated.
21 “For now, you have become like that —
just seeing my calamity makes you afraid.
22 Did I say to you, ‘Give me something,’
or, ‘From your wealth, offer a bribe on my behalf,’
23 or, ‘Save me from the enemy’s grip,’
or, ‘Redeem me from the clutches of oppressors’?
24 “Teach me, and I will be silent.
Make me understand how I am at fault.
25 Honest words are forceful indeed,
but what do your arguments prove?
26 Do you think [your own] words constitute argument,
while the speech of a desperate man is merely wind?
27 I suppose you would even throw dice for an orphan
or barter away your friend!
28 “So now, I beg you, look at me!
Would I lie to your face?
29 Think it over, please; don’t let wrong be done.
Think it over again: my cause is just.
30 Am I saying something wrong?
Can’t I recognize trouble when I taste it?
Yobu 6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yobu Ayanukula
6 Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,
2 (A)“Singa okweraliikirira kwange,
    n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
3 (B)Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
    ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
4 (C)Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
    n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
    entiisa ya Katonda erwana nange.
5 Entulege ekaaba awali omuddo,
    oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
6 Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
    oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
7 (D)Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
    biri ng’emmere etangasa.
8 (E)“Singa Katonda ampa kye nsaba,
    n’ampa kye nsuubira,
9 (F)yandisiimye okumbetenta
    ne mmalibwawo omukono gwe.
10 (G)Kino kyandikkakkanyizza
    obulumi obutakoma
    kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 (H)Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
    Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12 Amaanyi gange ga mayinja
    oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 (I)Mu mazima sirina maanyi
    n’obusobozi bwanzigwako.
14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
    tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15 (J)Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
    ate ne kakalira,
16 akaddugalirira
    buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17 (K)ate ne kaggwaawo
    buli lwe wabaawo ebbugumu.
18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
    ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19 (L)Abatambuze b’e Teema banoonya,
    bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20 (M)Baalina essuubi
    naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21 (N)Kaakano bwe mundabye ne mutya
    ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
    oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
    n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? 
24 (O)“Njigiriza nange n’aba musirise;
    ndaga we nsobezza.
25 (P)Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!
    Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26 (Q)Mugezaako okugolola ebigambo byange,
    ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27 (R)Mukubira ne bamulekwa akalulu
    ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.
Copyright © 1998 by David H. Stern. All rights reserved.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.