Job 36
Legacy Standard Bible
Elihu Says God Gives the Afflicted Justice
36 Then Elihu continued and said,
2 “Wait for me a little, and I will show you
That there [a]is yet more to be said in God’s behalf.
3 I will take up my knowledge from afar,
And I will ascribe (A)righteousness to my Maker.
4 For truly (B)my words are not a lie;
One who is [b](C)perfect in knowledge is with you.
5 Behold, God is mighty but does not (D)reject;
He is (E)mighty in the power of His heart.
6 He does not (F)keep the wicked alive,
But gives justice to (G)the afflicted.
7 He does not (H)withdraw His eyes from the righteous;
But (I)with kings on the throne
He has seated them forever, and they are exalted.
8 And if they are bound in fetters,
And are caught in the cords of (J)affliction,
9 Then He declares to them their work
And their transgressions, that they have (K)magnified themselves.
10 (L)He opens their ear to discipline,
And (M)says that they return from wickedness.
11 If they hear and serve Him,
They will (N)end their days in prosperity
And their years in (O)pleasures.
12 But if they do not hear, they shall pass away (P)by a weapon
And they will (Q)breathe their last without knowledge.
13 But the godless in heart lay up anger;
They do not cry for help when He binds them.
14 [c]They die in youth,
And their life perishes among the (R)cult prostitutes.
15 He delivers the afflicted in [d]their (S)affliction,
And (T)opens their ear in [e]time of oppression.
16 Then indeed, He (U)enticed you from the mouth of distress,
Instead of it, a broad place with no constraint;
And the comfort of your table full of [f]fatness.
17 “But you were full of (V)judgment on the wicked;
Judgment and justice take hold of you.
18 Beware lest (W)wrath entice you to scoffing;
And do not let the greatness of the (X)atonement turn you aside.
19 Will your [g]cries keep you from distress,
Or all the forces of your power?
20 Do not long for (Y)the night,
When people [h]vanish in their place.
21 Be careful, do (Z)not turn to wickedness,
For you have chosen this to (AA)affliction.
22 Behold, God is exalted in His power;
Who is a (AB)teacher like Him?
23 Who has appointed Him His way,
And who has said, ‘(AC)You have worked out [i]unrighteousness’?
24 “Remember that you should (AD)exalt His work,
Of which men have (AE)sung.
25 All men have beheld it;
Man looks from afar.
26 Behold, God is (AF)exalted, and (AG)we do not know Him;
The (AH)number of His years is unsearchable.
27 For (AI)He draws up the drops of water,
They distill rain for His [j]stream,
28 Which the clouds pour down,
They drip upon man abundantly.
29 Can anyone discern the (AJ)spreading of the clouds,
The (AK)thundering of His [k]pavilion?
30 Behold, He spreads His [l]lightning about Him,
And He covers the depths of the sea.
31 For by these He (AL)judges peoples;
He (AM)gives food in abundance.
32 He covers His hands with the [m]lightning,
And (AN)commands it to strike the mark.
33 Its (AO)thundering declares about Him;
The cattle also, concerning what is coming up.
Yobu 36
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
36 Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
2 “Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,
nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
3 (A)Amagezi ge nnina gava wala,
era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
4 (B)Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.
5 (C)“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
6 (D)Talamya bakozi ba bibi,
era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
7 (E)Taggya maaso ge ku batuukirivu,
abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
8 (F)Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
9 (G)n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
nti, beewaggudde,
10 (H)aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 (I)Bwe bamugondera ne bamuweereza,
ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 (J)Naye bwe batamugondera,
baalizikirizibwa n’ekitala,
bafe nga tebalina magezi.
13 (K)“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 (L)Bafiira mu buvubuka bwabwe
era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15 Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.
16 (M)“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17 (N)Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;
okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18 (O)Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;
obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19 Obugagga bwo
oba okufuba kwo kwonna
binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20 (P)Teweegomba budde bwa kiro
olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21 (Q)Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,
by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.
22 (R)“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;
ani ayigiriza nga ye?
23 (S)Ani eyali amukubidde amakubo,
oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
24 (T)Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye,
abantu gye bayimba mu nnyimba.
25 Abantu bonna baagiraba,
omuntu agirengerera wala.
26 (U)Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe;
obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.
27 (V)“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi,
agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
28 (W)ebire bivaamu amazzi gaabyo,
enkuba n’ekuba abantu.
29 (X)Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire,
okubwatuka okuva ku kituuti kye?
30 Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu,
era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
31 (Y)Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga,
n’agawa emmere mu bungi.
32 (Z)Emikono gye agijjuza eraddu,
n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
33 Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja,
n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”
Legacy Standard Bible Copyright ©2021 by The Lockman Foundation. All rights reserved. Managed in partnership with Three Sixteen Publishing Inc. LSBible.org For Permission to Quote Information visit https://www.LSBible.org.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.