Yobu 28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
n’ekifo gye balongooseza effeeza.
2 (A)Ekyuma kisimibwa mu ttaka,
n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
3 (B)Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
4 Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
mu bifo eteyita bantu,
ewala okuva abantu gye bayita.
5 (C)Ensi evaamu emmere,
naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
6 Safira eva mu mayinja gaayo,
era enfuufu yaayo erimu zaabu.
7 Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
8 Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
tewali mpologoma yali eyiseeyo.
9 Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10 Asima ensalosalo ku njazi;
n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
11 Anoonya wansi mu migga,
n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.
12 (D)“Naye amagezi gasangibwa wa?
Okutegeera kuva wa?
13 (E)Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
15 (F)Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
17 (G)Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
18 (H)Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 (I)Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.
20 (J)“Kale amagezi gava ludda wa?
N’okutegeera kubeera ludda wa?
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
22 (K)Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
23 (L)Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
24 (M)kubanga alaba enkomerero y’ensi
era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
25 (N)Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
n’apima n’amazzi,
26 (O)bwe yateekera enkuba etteeka
era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
n’agateekawo, n’agagezesa.
28 (P)N’agamba omuntu nti,
‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”
Job 28
English Standard Version
Job Continues: Where Is Wisdom?
28 “Surely there is a mine for silver,
and a place for gold that they (A)refine.
2 Iron is taken out of the earth,
and copper is smelted from the ore.
3 Man puts an end to darkness
and searches out to the farthest limit
the ore in (B)gloom and (C)deep darkness.
4 He opens shafts in a valley away from where anyone lives;
they are forgotten by travelers;
they hang in the air, far away from mankind; they swing to and fro.
5 As for the earth, (D)out of it comes bread,
but underneath it is turned up as by fire.
6 Its stones are the place of (E)sapphires,[a]
and it has dust of gold.
7 “That path no bird of prey knows,
and the falcon's eye has not seen it.
8 (F)The proud beasts have not trodden it;
(G)the lion has not passed over it.
9 “Man puts his hand to (H)the flinty rock
and overturns mountains by the roots.
10 He cuts out channels in the rocks,
and his eye sees every precious thing.
11 He dams up the streams so that they do not trickle,
and the thing that is hidden he brings out to light.
12 (I)“But where shall wisdom be found?
And where is the place of understanding?
13 Man does not know its worth,
and it is not found in (J)the land of the living.
14 (K)The deep says, ‘It is not in me,’
and the sea says, ‘It is not with me.’
15 It (L)cannot be bought for gold,
and silver cannot be weighed as its price.
16 It cannot be valued in (M)the gold of (N)Ophir,
in precious (O)onyx or (P)sapphire.
17 Gold and glass cannot equal it,
nor can it be exchanged for jewels of fine gold.
18 No mention shall be made of (Q)coral or of crystal;
the price of wisdom is above (R)(S)pearls.
19 (T)The topaz of Ethiopia cannot equal it,
nor can it be valued in pure gold.
20 “From where, then, does wisdom come?
And where is the place of understanding?
21 It is hidden from the eyes of (U)all living
and concealed from the birds of the air.
22 (V)Abaddon and Death say,
‘We have heard a rumor of it with our ears.’
23 (W)“God understands the way to it,
and he knows its place.
24 For he (X)looks to the ends of the earth
and sees everything under the heavens.
25 When he (Y)gave to the wind its weight
and apportioned the waters by measure,
26 when he made a decree for the rain
and (Z)a way for the lightning of the thunder,
27 then he saw it and declared it;
he established it, and searched it out.
28 And he said to man,
‘Behold, (AA)the fear of the Lord, that is wisdom,
and to (AB)turn away from evil is understanding.’”
Footnotes
- Job 28:6 Or lapis lazuli; also verse 16
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
The ESV® Bible (The Holy Bible, English Standard Version®), © 2001 by Crossway, a publishing ministry of Good News Publishers. ESV Text Edition: 2025.
