Add parallel Print Page Options

Abeesigwa Bagambibwa Okudduka

(A)Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!
    Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
    era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
    okuzikirira okw’entiisa.
Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,
    omulungi oyo omubalagavu.
(B)Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.
    Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,
    buli omu yeezimbire w’ayagala.

(C)“Mwetegeke mumulwanyise!
    Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!
Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,
    n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
Tugende, tulumbe kiro
    tuzikirize amayumba ge.”

(D)Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,

“Muteme emiti mukole entuumo
    muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
    kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
(E)Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,
    entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.
Obulwadde n’ebiwundu
    bye ndaba buli bbanga.
(F)Nkulabula,
    ggwe Yerusaalemi,
emmeeme yange ereme okwawukana naawe,
    si kulwa ng’ofuuka amatongo.”

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Balisusumbulira ddala n’abo abatono
    abaliba basigaddewo mu Isirayiri.
Ddamu oyise omukono mu matabi
    ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”

10 (G)Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
    Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
    ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
    tebakisanyukira n’akamu.
11 (H)Kyenva nzijula ekiruyi
    sikyasobola kukizibiikiriza.

“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
    ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
    abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12 (I)Enju zaabwe
    ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
    kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
    bw’ayogera Mukama.
13 (J)“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
    buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
    boogera eby’obulimba.
14 (K)Ekiwundu ky’abantu bange
    bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
    So nga tewali mirembe.
15 (L)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
    Nedda.
    Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
    balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
    bw’ayogera Mukama.

16 (M)Kino Mukama ky’agamba nti,

“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
    Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
    emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
    Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17 (N)Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
    Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
    naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
18 Kale muwulire,
    mmwe amawanga
    era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19 (O)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
    by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
    n’etteeka lyange baligaanye.
20 (P)Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
    Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
    n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”

21 (Q)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;
    bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.
    Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”

22 (R)Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,

“Laba, eggye lijja
    eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
    liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
23 (S)Bakutte omutego n’effumu,
    abakambwe abatalina kusaasira.
Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,
    nga beebagadde embalaasi zaabwe:
bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo
    okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”

24 (T)Tuwulidde ettutumu lyabwe;
    era emikono gyaffe giweddemu amaanyi
okulumwa okunene kutukutte
    n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
25 (U)Togeza kugenda mu nnimiro
    newaakubadde okutambulira mu kkubo;
kubanga omulabe abunye wonna wonna
    n’entiisa ejjudde mu bantu.
26 (V)Kale nno mmwe abantu,
    mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
    omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
    ajja kutugwako mavumbavumba.

27 (W)“Nkufudde ekigezesa
    abantu bange n’ekyuma,
osobole okulaba n’okugezesa
    amakubo gaabwe.
28 (X)Bonna bakyewaggula
    abakakanyavu abagenda bawaayiriza,
bikomo era kyuma,
    bonna boonoonefu.
29 Emivubo bagifukuta n’amaanyi,
    omuliro gumalawo essasi,
naye balongoosereza bwereere
    kubanga ababi tebaggyibwamu.
30 (Y)Baliyitibwa masengere ga ffeeza,
    kubanga Mukama abalese.”

Yeremiya Abuulira mu Yeekaalu

Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama. (Z)Yimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno.

Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama. (AA)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu. (AB)Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’ (AC)Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne, (AD)ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, (AE)kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe n’emirembe. Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa.

(AF)“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; 10 (AG)ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna? 11 (AH)Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bw’ayogera Mukama.

12 (AI)“Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo ly’erinnya lyange, mulabe kye nakikola olw’ekibi ky’abantu bange Isirayiri. 13 (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba. 14 (AK)Noolwekyo, ekyo kye nakola e Siiro nzija kukikola kaakano ku nnyumba eyitibwa Erinnya lyange, era gye mwesiga, era n’ebifo bye nabawa mmwe ne bakitammwe. 15 (AL)Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.

16 (AM)“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire. 17 Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda era ne mu nguudo za Yerusaalemi? 18 (AN)Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu. 19 (AO)Naye nze gwe balumya?” bw’ayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?”

20 (AP)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”

Okugaana Okuwulira Bannabbi

21 (AQ)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire. 22 (AR)Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka. 23 (AS)Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ 24 (AT)Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso. 25 (AU)Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi. 26 (AV)Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.

27 (AW)“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. 28 Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. 29 (AX)Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”

Ekiwonvu eky’Okufiiramu

30 (AY)“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. 31 (AZ)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. 32 (BA)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. 33 (BB)Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; 34 (BC)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.

Jerusalem Under Siege

“Flee for safety, people of Benjamin!
    Flee from Jerusalem!
Sound the trumpet(A) in Tekoa!(B)
    Raise the signal over Beth Hakkerem!(C)
For disaster looms out of the north,(D)
    even terrible destruction.
I will destroy Daughter Zion,(E)
    so beautiful and delicate.(F)
Shepherds(G) with their flocks will come against her;
    they will pitch their tents around(H) her,
    each tending his own portion.”

“Prepare for battle against her!
    Arise, let us attack at noon!(I)
But, alas, the daylight is fading,
    and the shadows of evening grow long.
So arise, let us attack at night
    and destroy her fortresses!”

This is what the Lord Almighty says:

“Cut down the trees(J)
    and build siege ramps(K) against Jerusalem.
This city must be punished;
    it is filled with oppression.(L)
As a well pours out its water,
    so she pours out her wickedness.
Violence(M) and destruction(N) resound in her;
    her sickness and wounds are ever before me.
Take warning, Jerusalem,
    or I will turn away(O) from you
and make your land desolate
    so no one can live in it.”

This is what the Lord Almighty says:

“Let them glean the remnant(P) of Israel
    as thoroughly as a vine;
pass your hand over the branches again,
    like one gathering grapes.”

10 To whom can I speak and give warning?
    Who will listen(Q) to me?
Their ears are closed[a](R)
    so they cannot hear.(S)
The word(T) of the Lord is offensive to them;
    they find no pleasure in it.
11 But I am full of the wrath(U) of the Lord,
    and I cannot hold it in.(V)

“Pour it out on the children in the street
    and on the young men(W) gathered together;
both husband and wife will be caught in it,
    and the old, those weighed down with years.(X)
12 Their houses will be turned over to others,(Y)
    together with their fields and their wives,(Z)
when I stretch out my hand(AA)
    against those who live in the land,”
declares the Lord.
13 “From the least to the greatest,
    all(AB) are greedy for gain;(AC)
prophets and priests alike,
    all practice deceit.(AD)
14 They dress the wound of my people
    as though it were not serious.
‘Peace, peace,’ they say,
    when there is no peace.(AE)
15 Are they ashamed of their detestable conduct?
    No, they have no shame at all;
    they do not even know how to blush.(AF)
So they will fall among the fallen;
    they will be brought down when I punish(AG) them,”
says the Lord.

16 This is what the Lord says:

“Stand at the crossroads and look;
    ask for the ancient paths,(AH)
ask where the good way(AI) is, and walk in it,
    and you will find rest(AJ) for your souls.
    But you said, ‘We will not walk in it.’
17 I appointed watchmen(AK) over you and said,
    ‘Listen to the sound of the trumpet!’(AL)
    But you said, ‘We will not listen.’(AM)
18 Therefore hear, you nations;
    you who are witnesses,
    observe what will happen to them.
19 Hear, you earth:(AN)
    I am bringing disaster(AO) on this people,
    the fruit of their schemes,(AP)
because they have not listened to my words(AQ)
    and have rejected my law.(AR)
20 What do I care about incense from Sheba(AS)
    or sweet calamus(AT) from a distant land?
Your burnt offerings are not acceptable;(AU)
    your sacrifices(AV) do not please me.”(AW)

21 Therefore this is what the Lord says:

“I will put obstacles before this people.
    Parents and children alike will stumble(AX) over them;
    neighbors and friends will perish.”

22 This is what the Lord says:

“Look, an army is coming
    from the land of the north;(AY)
a great nation is being stirred up
    from the ends of the earth.(AZ)
23 They are armed with bow and spear;
    they are cruel and show no mercy.(BA)
They sound like the roaring sea(BB)
    as they ride on their horses;(BC)
they come like men in battle formation
    to attack you, Daughter Zion.(BD)

24 We have heard reports about them,
    and our hands hang limp.(BE)
Anguish(BF) has gripped us,
    pain like that of a woman in labor.(BG)
25 Do not go out to the fields
    or walk on the roads,
for the enemy has a sword,
    and there is terror on every side.(BH)
26 Put on sackcloth,(BI) my people,
    and roll in ashes;(BJ)
mourn with bitter wailing(BK)
    as for an only son,(BL)
for suddenly the destroyer(BM)
    will come upon us.

27 “I have made you a tester(BN) of metals
    and my people the ore,
that you may observe
    and test their ways.
28 They are all hardened rebels,(BO)
    going about to slander.(BP)
They are bronze and iron;(BQ)
    they all act corruptly.
29 The bellows blow fiercely
    to burn away the lead with fire,
but the refining(BR) goes on in vain;
    the wicked are not purged out.
30 They are called rejected silver,(BS)
    because the Lord has rejected them.”(BT)

False Religion Worthless

This is the word that came to Jeremiah from the Lord: “Stand(BU) at the gate of the Lord’s house and there proclaim this message:

“‘Hear the word of the Lord, all you people of Judah who come through these gates to worship the Lord. This is what the Lord Almighty, the God of Israel, says: Reform your ways(BV) and your actions, and I will let you live(BW) in this place. Do not trust(BX) in deceptive(BY) words and say, “This is the temple of the Lord, the temple of the Lord, the temple of the Lord!” If you really change(BZ) your ways and your actions and deal with each other justly,(CA) if you do not oppress(CB) the foreigner, the fatherless or the widow and do not shed innocent blood(CC) in this place, and if you do not follow other gods(CD) to your own harm, then I will let you live in this place, in the land(CE) I gave your ancestors(CF) for ever and ever. But look, you are trusting(CG) in deceptive(CH) words that are worthless.

“‘Will you steal(CI) and murder,(CJ) commit adultery(CK) and perjury,[b](CL) burn incense to Baal(CM) and follow other gods(CN) you have not known, 10 and then come and stand(CO) before me in this house,(CP) which bears my Name, and say, “We are safe”—safe to do all these detestable things?(CQ) 11 Has this house,(CR) which bears my Name, become a den of robbers(CS) to you? But I have been watching!(CT) declares the Lord.

12 “‘Go now to the place in Shiloh(CU) where I first made a dwelling(CV) for my Name,(CW) and see what I did(CX) to it because of the wickedness of my people Israel. 13 While you were doing all these things, declares the Lord, I spoke(CY) to you again and again,(CZ) but you did not listen;(DA) I called(DB) you, but you did not answer.(DC) 14 Therefore, what I did to Shiloh(DD) I will now do to the house that bears my Name,(DE) the temple(DF) you trust in, the place I gave to you and your ancestors. 15 I will thrust you from my presence,(DG) just as I did all your fellow Israelites, the people of Ephraim.’(DH)

16 “So do not pray for this people nor offer any plea(DI) or petition for them; do not plead with me, for I will not listen(DJ) to you. 17 Do you not see what they are doing in the towns of Judah and in the streets of Jerusalem? 18 The children gather wood, the fathers light the fire, and the women knead the dough and make cakes to offer to the Queen of Heaven.(DK) They pour out drink offerings(DL) to other gods to arouse(DM) my anger. 19 But am I the one they are provoking?(DN) declares the Lord. Are they not rather harming themselves, to their own shame?(DO)

20 “‘Therefore this is what the Sovereign(DP) Lord says: My anger(DQ) and my wrath will be poured(DR) out on this place—on man and beast, on the trees of the field and on the crops of your land—and it will burn and not be quenched.(DS)

21 “‘This is what the Lord Almighty, the God of Israel, says: Go ahead, add your burnt offerings to your other sacrifices(DT) and eat(DU) the meat yourselves! 22 For when I brought your ancestors out of Egypt and spoke to them, I did not just give them commands(DV) about burnt offerings and sacrifices,(DW) 23 but I gave them this command:(DX) Obey(DY) me, and I will be your God and you will be my people.(DZ) Walk in obedience to all(EA) I command you, that it may go well(EB) with you. 24 But they did not listen(EC) or pay attention;(ED) instead, they followed the stubborn inclinations of their evil hearts.(EE) They went backward(EF) and not forward. 25 From the time your ancestors left Egypt until now, day after day, again and again(EG) I sent you my servants(EH) the prophets.(EI) 26 But they did not listen to me or pay attention.(EJ) They were stiff-necked(EK) and did more evil than their ancestors.’(EL)

27 “When you tell(EM) them all this, they will not listen(EN) to you; when you call to them, they will not answer.(EO) 28 Therefore say to them, ‘This is the nation that has not obeyed the Lord its God or responded to correction.(EP) Truth(EQ) has perished; it has vanished from their lips.

29 “‘Cut off(ER) your hair and throw it away; take up a lament(ES) on the barren heights, for the Lord has rejected and abandoned(ET) this generation that is under his wrath.

The Valley of Slaughter

30 “‘The people of Judah have done evil(EU) in my eyes, declares the Lord. They have set up their detestable idols(EV) in the house that bears my Name and have defiled(EW) it. 31 They have built the high places of Topheth(EX) in the Valley of Ben Hinnom(EY) to burn their sons and daughters(EZ) in the fire—something I did not command, nor did it enter my mind.(FA) 32 So beware, the days are coming, declares the Lord, when people will no longer call it Topheth or the Valley of Ben Hinnom, but the Valley of Slaughter,(FB) for they will bury(FC) the dead in Topheth until there is no more room. 33 Then the carcasses(FD) of this people will become food(FE) for the birds and the wild animals, and there will be no one to frighten them away.(FF) 34 I will bring an end to the sounds(FG) of joy and gladness and to the voices of bride and bridegroom(FH) in the towns of Judah and the streets of Jerusalem,(FI) for the land will become desolate.(FJ)

Footnotes

  1. Jeremiah 6:10 Hebrew uncircumcised
  2. Jeremiah 7:9 Or and swear by false gods